Yesu Anatera Okudda
Added: Aug 22, 2026
0:00
2:02
Download
▶ 2 plays
⇩ 16 downloads
Song description
Michael Ndawula Mbeera delivers a powerful Gospel message in “Yesu Anatera Okudda,” a song whose title means “Jesus is about to come back.” The song focuses on the Christian belief in the second coming of Jesus, encouraging listeners to remain faithful and spiritually prepared. Through its Gospel message, Michael Ndawula Mbeera reminds believers that Jesus' return is something to look forward to while also calling for readiness, faith, and a life centred on God. The song carries a sense of urgency, encouraging listeners not to take their spiritual journey for granted. “Yesu Anatera Okudda” serves as both a declaration of faith and a reminder of the hope Christians place in the return of Jesus.
0
Comments
Lyrics
INTRO
Olunaku lwa Mukama waffe Yesu lunatera okutuukka naye lugenda kujja ng’omubbi bwajja ekiro, ng’amataba bwe gajja mu nnaku za Nuwa negabatwaala bonna bwekutyo bwekugenda okuba okujja kwa Yesu.
VERSE 1.
Nzize okubabulira ku nnaku ez’oluvanyuma,
Mwetegereze bwonn’obubonero,
Ng’ebyawandiikibwa ba nnabi okuva mu kitabo ekitukuvu
Yesu anatera okudda.
Kondere zivugge n’ebivugga ebilara bivuge,
Olunaku lwa Mukama waffe Yesu lunatera okujja,
Ng’ennaku za Nuwa bwe zaali bwekutyo bwe kuliba
Yesu anatera Okudda.
CHORUS
Yesu anatera okkuda,
Yesu anatera okkuda,
Tuli mu nnaku embi, ez’oluvanyuma,
Yesu anatera okkuda
VERSE 2.
Laba ebikankano mu bifo ebittalibimu, Musisi,
Kawumpuli nga Ssenyiga omukambwe,
Laba entalo n’ettutumu ly’entalo,
Amawanga gataabala n’amawanga,
Ba nnabi b’obulimba bali mu kukyamya bangi
Nga bayita mu kukola Obuboonero obukulu n’ebyamagero,
Obwakabaka butabaala n’obwakabaka
Enno y’entandikwa y’ebisa ebireeta omwana.
CHORUS………………………………….
VERSE 3.
Laba okwegulumizza okuli mu nsi,
Okwenyumiriza n’okweyagaliza,
Obukakanyavu, Obutabagana, Okulwanagana, Obutagabwako,
Ettemu n’obulabe eddogo n’obunyazi,
Obujja n’obuvumi , enkwe biyinze,
Ettima n’omululu wonna bisuuse,
Obunanfusi buyitiridde,
Okulwanagana n’obutegenderezza,
Obukambwe ng’enume z’ebugisu,
Empisa mu bangi zisiwuuse
Gwe laba Obwenzi ne kifuuka bakazi,
Okwagala kw’abasinga obungi kwawola
Tetwagala baluganda, tweyagala ffekka,
Twagala nnyo ebintu by’ensi okusinga katonda,
Ensi enno eggendawa abange lab’omulembe gunno,
Obujjemu bweyongedde mu baana ab’omulembe gunno,
Tebakyagondera bazadde babwe,
Bangi begulumizza
CHORUS…………………………………….
BRIDGE. 1
Kale oyo ayagala obulamu n’okulaba ennaku enyingi,
Aziyizenga olulimi lwe mu bubi alukozesenga obulungi,
N’emiimwa gye giremenga okwogera obukuusa,
Yesu anatera okudda
Kati weewalenga obubi okolenga obulungi
Onoonyenga emirembe mukwano ogigobererenga,
Kubanga obwakabaka bwa katonda butuukirivu, mirembe n’essanyu,
Yesu anatera okudda.
Tulokore ebiseera tudde eri Yesu,
Tulokore ebiseera tudde eri Yesu,
Twenenye tudde eri Yesu,
Kubanga anatera okudda.
Abasumba bwe po n’abasomesa,
Temukowa mwe mukole ogwamwe,
Abatume n’ababulizi b’enjiri,
Temukowa mwe mukole ogwamwe,
Anatera okudda.
Interval
……………………………………..
………………………………………
………………………………………
Kale twanguwe tudde eri Yesu
Atusange mu kitiibwa nga tetuyina bbala ,
Newankubadde olufunyiro,
Newankubadde kyonna ekifaanana nga bino naye nga tutukudde,
Kati ggwe atanalokoka olinda ki?
Wayo obulamu bwo eri Yesu akulokole.
BRIDGE 2
Ebiro by’okulaba ennaku n’okuyiganyizibwa mazima bisembedde era ddala webiri,
Kawumpuli aziinze amawanga gonna,
Ng’alaanga enkomelero ey’ensi,
Naye Omuyinza wa byonna anatubeera, anatubeera,
nga tanazingako nsi,
Tebakulimba enjiri ya Yesu ejakubuulirwa,
Mu mawanga gonna awo enkomerero ery’oke ettuke
CHORUS IN SWAHILI.
Amekaribia kurudi- Uyu bwana Yesu,
Amekaribia kurudi- Kunyakua kanisa lake,
Amekaribia kurudi- tuwe naye mbiguni,
Amekaribia kurudi- O O wasubiri nini,
Amekaribia kurudi- kumpokea Yesu,
Amekaribia kurudi- atakusafisha kwa damu yake- kurudi,
Amekaribia kurudi- Umuone baba,
Amekaribia kurudi.
TAG.
Solist Hamm ha-ha ….. Hammmm….
Hamm ha-ha….. Hammmm….
Kids Yererereema….. Yererereema
Yererereema….. Yererereema
Solist Bombombombombo- bombo- bombo
Bombombombombo- bombo- bombo
Kids Ayiyeee……. Katika
Ayiyeee……. Siku za mwisho
Ayiyeee……. Katika
Ayiyeee……. Siku za mwisho
Solist Nawulidde Yesu anatera,
Anatera okudda
Nawulidde Yesu anatera,
Anatera okudda.
Kids Ayiyeee……. Katika
Ayiyeee……. Siku za mwisho
Ayiyeee……. Katika
Ayiyeee……. Siku za mwisho
Solist Bombombombombo- bombo- bombo
Bombombombombo- bombo- bombo
No comments yet — be the first to share your thoughts.